Wasswa Biriggwa alagiddwa amanyi,ba Kanyama bamulemesezza ekibiina

Ssentebe w'olukiiko olufuzi olwa FDC Ambasada Wasswa Biriggwa
Image: Yintaneeti

 

Ssentebe w’olukiiko olufuga ekibiina kya FDC Omulongo Ambasada Wasswa Biriggwa agaaniddwa okutuuza olukungaana lwa bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina mu budde bwa Kalasamayanzi nga bwe yabadde ateeseteese.Biriggwa waatukidde ku kitebe e Najjanankumbi ng’enziji eziyingira ziyiiriddwako amakufulu amapya nga n’ekifo kyonna kikuumibwa ba Kanyama.

Omukulu ono bakulu banne  bazze nabo bagaaniddwa okuyingira ne bannamawulire ne bakonkomalira wabweru.Omusasi waffe Robert Ssegawa atutegeezezza nti Omulongo Biriggwa akkiriziddwa okuyingira wabula baabadde yayise nabo ne bagaanibwa okuyingira ssonga yabadde ayise bannamawulire.

Eby’okwerinda ku kitebe ky’ekibiina kino bikyusiddwa nnyo olwa leero ng aba Kanyama beefuze embeera yonna.Ekitebe kino embeera yakisajjuseeko ssabbiiti eno Omubaka wa Munisipaali ye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda ng’ali wamu n’Amyuka Ssentebe w’ekibiina kino mu Buganda Ssaalongo Erias Lukwago ne bategeeza eggwanga nga basinziira e Nsambya ng’abakulu mu kibiina bwe beezibika ssente zebataabategeezaako gye zaava nga bakulu bannaabwe.Kino kyawalirizza musajjamukulu eyaliko Ssenkaggale w’ekibiina kino Ret Col Dr Kiiza Kifeefe Besigye okuvaayo ne yeesamba okwerumaaluma okuli mu kibiina kino era n’ategeeza nti bukyanga akyabulira atutte ekiseera ng’ebikirimu abaiwulira nga bannayuganda abalala era tavunanyizibwa ku mbeera eyo.