Amuriat atabuse,omuliro mu FDC

Ssenkaggale wa FDC Patrick Amuriat Oboi
Image: Yintaneeti

Ssenkaggale wa FDC Patrick Amuriat Oboi yeeweredde okukangavvula bannakibiina kino abeefunyiridde ku kuwereba bakulu bannaabwe mukibiina enziro.Oboi asinzidde ku kitebe kya kibiina kino e Najjanankumbi ku mwasanjala ava e Kampala okudda e Ntebe n’agamba nti kikyamu nnyo omuntu okwogerera munne eby’engeri eyo awatali bwino amulumika.

Amuriat okuvaayo bwati kiddiridde bannakibiina okuli Omubaka Munisipaali ye Kira Ibrahim Ssemujju Nganda n’Amyuka Ssenkulu waakyo Ssaalongo Erias Lukwago era Loodimmeeya wa Kampala okulangira mukama waabwe oyo okwezibika Obuwumbi bwa ssente obwava mu kibiina kya NRM atambuze Kakuyege we jjuuzi mu kalulu k’obukulembeze bw’eggwanga.Amuriat agambye nti Ssemujju Nganda awerebye ekifaananyi ky’ekibiina kyabwe Enziro nga tayinza kumala galekwa awo nga takangavvuddwa.

Ye eyaliko Ssenkaggale wa FDC Ret Col DR Kiiza Besigye agambye nti takirinaako mutawaana bwanenyezebwa ku lw’entalo eziri mu kibiina kino newankubaddenga yakita kyetengerere n’abakulembeze abakirimu.Bwayogeddeko ne bannamawulire wano mu Kampala,Besigye agambye nti emyaka kaakano 12 bukyanga alekulira kibiina,takolagana butereevu na beyaleka mu kibiina kino ku nsonga z’entambuza yaakyo ne kaweefube gweyalingako ow’okununula bannayuganda mu buwambe mwebali.