Omwepisikoopi Bakyenga eyawummula, awummudde n'egy'ensi

Omwepisikoopi eyawummula Paul Kamuza Bakyenga
Image: Yintaneeti

Ekerezia Katolika eguddemu ekiyongobero enkya ya leero,Omwepisikoopi eyawummula egy’Obusumba bw’Endiga z’ekisibo kya Kristo Paul Kamuza Bakyenga bwassirizza ogw’enkomerero mu ddwaliro ly’Ekerezia e Nsambya.

Amawulire g’okufa kwa musajja wa Katonda ono gasaasanyiziddwa Rev Fr Charles Mutabaruka ow’eby’empuliziganya mu Ssaza ly’Ekerezia Katolika erye Mbarara omukulu gyeyasembayo okuweerereza alyoke awummule.

Omukulu ategeezezza nti musajja wa Katonda abaddenga n’ebirwadde ebitera okutawaanya abakuliridde mu myaka byabadde yazze okukeberwako mu ddwaliro e Nsambya eby’embi Lugaba n’amujjulula.Ssaabasumba Bakyenga yazaalibwa mu 1944 e Bumbaire mu ggombolola ye Igara mu district ye Bushenyi,ono yaweebwa Essaakalamentu lya Ordin mu 1971 bweyali aweza emyaka amakumi 27.

Enteekateeka z’okumukungubagira awamu n’okusabira Omwoyo gwe bwezinaafulumizibwa Ekerezia tunaazikutuusaako omusomi waffe.