Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Kagadi bakola butassa mukka butassa mwoyo okulaba nga bataasa obulamu bw’abantu abana ababatwaliddwa mu kiro nga bataawa oluvannyuma lw’okugoyerwa mu kabenje ekagudde e Kyamutuzi mu Town Council ye Muhorro e Kagadi Lukululana UAD 431Q eyabadde ebinikiddwa akabindo k’eby’amaguzi bweyalemereddwa okusiba n’etomera Takisi UBM 426V omwabadde abasaabaze 19 kkumi n’abataano kubo bamale bafiirewo mbulaga.
Ssekamwa wa Poliisi mu ttundutundu eryetoolodde e Nnyanja Albert Juius Hakiza ategeezezza nti Lukululana ebadde eweta kkoona n’egaana okusiba n’eryoka egoya Takisi ebadde edda gyeva ng’abafudde batwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lye limu abasawo bakole ogwabwe.
Hakiza agambye nti abalumiziddwa n’abafudde ebibakwatako tebinnamanyika byonna ng’essaawa yonna baakutegeeza eggwanga amannya gaabwe oluvannyuma lw’okugafuna.Bano akabenje bakafunye mu budde obwa Kawozamasiga mu kiro ekikeesezza leero.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.