100 bafiiridde mu bubenje bw'oku nguudo essabbiiti eyo

Micheal Kananura Omwogezi wa poliisi y'ebidduka mu ggwanga
Image: Yintaneeti

Abantu 100 be bafiiridde mu bubenje bw’oku nguudo essabbiiti ewedde mu bubenje 432 obwagwawo okwetooloola eggwanga.Ssekamwa wa poliisi y’ebudduka mu ggwanga Micheal Kananura ategeezezza nti abasaabaze ku pikipiki za Boda Boda,abavuzi baazo n’abayise ab’ebigere be baasinze okufiira awamu n’okulumizibwa mu bubenje obw’engeri eno nga bano babadde 82.Kananura agambye nti mu bubenje obwo bwonna abantu ebikumi 324 be baggyibwawo n’ebisago eby’amanyi bannaabwe 100 ne bagenderawo ffenna gyetuligenda Enviiri gyezittira ng'omuddo.

 

Bo abasawo mu ddwaliro ekkulu e Kagadi bakola butassa mukka butassa mwoyo okulaba nga bataasa obulamu bw’abantu abana abaabatwaliddwa nga bataawa oluvannyuma lw’okugoyerwa mu kabenje ekaagudde e Kyamutuzi mu Town Council ye Muhorro e Kagadi Lukululana UAD 431Q eyabadde ebinikiddwa akabindo k’eby’amaguzi bweyalemereddwa okusiba n’etomera Takisi UBM 426V omwabadde abasaabaze 19 kkumi n’abataano kubo bamale bafiirewo mbulaga.

Micheal Kananura agambye nti Lukululana ebadde eweta kkoona n’egaana okusiba n’eryoka egoya Takisi ebadde edda gyeva ng’abafudde batwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lye limu abasawo bakole ogwabwe ng’akabenje bakafunye mu budde obwa Kawozamasiga mu kiro ekikeesezza leero.