Kookolo agonze,Uganda Cancer Institute esajjakudde

Dr Jackson Orem akulira Uganda Cancer Institute ne Dr Niyonzima
Image: Yintaneeti

Abakugu mu kujjanjaba ebirwadde bya Kookolo wano mu ggwanga bakakasizza nti oluwenda lwe bakutte mu kukyusa enzijanjaba y’ebirwadde bino nga bayita mu kweyambisa ebyuma eby’ekikugu boolekedde okugondeza obulamu abatawanyizibwa kookolo.

Akulira eddwaliro erijjanjabirwamu Kookolo Dr Jackson Orem asinzidde mu kulambuza lukiiko olw’okuntikko oluvunanyizibwa ku mirimu mu Uganda Cancer Institute wano e Mulago olukulemberwamu Kakensa William Bazeyo n’agamba nti ebyuma bye bongedde okuleeta ebijjanjaba kookolo ow’engeri zonna mu ngeri egondeza abajjanjaba n’ababeera bajjanjabwa byakukendeereza ddala ku buzito bw’ebirwadde bino.Kakensa Bazeyo oluvannyuma lw’okulambula ebyuma byonna n’okunnyonnyolwa bwe bikozesebwa akakasizza nti ekkubo lye bakutte lyakubatuusa ku biruubirirwa byabwe.

Omu ku balwadde abali ku bujjanjabi bwa Kookolo w’Obusajja amanyiddwa nga Prostate Cancer omutuuze we Kagoma wano mu district ye Wakiso atayatuukiriziddwa mannya ategeezezza nti omusajja yenna bwalemererwa okufuuyisa ng’awulira Omusulo teguggya asaana agende yeekebeze alabe oba alina kookolo w’Obusajja.Ono ategeezezza nti yatandiikiriza mpola ng’omusulo gwesiba n’akeberebwa n’assibwamu Akapiira akaamuyamba okufuuyisa olwo oluvannyuma n’addamu okwekebeggyebwa abakugu balabe bwe banaamujjanjaba.