Munnakibiina kya UPC Dr Eunice Otuko Apio yalangiriddwa ku buwanguzi bw’akalulu akaabadde aka kaasammeeme mu Oyam North akaakubiddwa olunaku lwajjo bweyasinzizza banne bonna abalala abasatu obululu.Ono yalangiriddwa akulira eby’okulonda mu district ya Oyam Omwami Onoba Richard weewaawo ng’enteekateeka z’okuwangula zaabadde ziraze olubege ku munnakibiina kya NRM mutabani w’eyali akiikiriza abataka eruuyi eyo Okello Engola.
Dr Eunice Otuko Apio yafunye obululu 15,718,eyamuddiridde era bwe baabadde ku mbiranye munnakibiina kya NRM Engola Junior n’afuna obululu 15,161,Okelo Newton Freddy munna FDC n’addirira n’obululu 714 ate munnakibiina kya NUP Okello Daniel n’avaayo n’obubulu 403.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.