Amawulire g’okufa kw’omu ku bannaggagga b’omu Kampala Apollo Nyegamehe nnannyini Aponye Mall wano mu Kampala gasannyalazza banneekoleragyange banne.Apollo afiiridde mu kabenje akagudde ku mwasanjala wa Mbarara-Kabale mu district ye Ntungamo mmotokaye mwabadde asaabalidde bweyingiridde Loole ebadde esimbiddwa ku kkubo.
Mmotoka Number UBF 300Z ey’ekika kya Landcruiser V8 Nyegamehe mwabadde bwetomedde Loole tazzeemu era aggyiddwamu n'agalamizibwa wabweru waayo ng'omugoba we n’abalala babiri bwe bagibaddemu ne baddusibwa mu malwaliro nga bataawa.
Aponye y'abadde nnannyini Ssebizimbe eyogeddwako eya Aponye Mall,Aponye trailers, Aponye soap, Aponye Maize flour era Ssentebe w'ekibiina kya NRM mu district ye Rukiga.Ebyogeddwa ku kufa kw'omugagga ono bingi wano mu Kampala era y'emboozi ekeeredde ku mimwa gy'abasinga n'okusingira ddala abagoba ba Boda Boda.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.