Minister w’ensonga z’amawanga g’ettundutundu ly’Obuvanjuba bwa Ssemazinga ono era Omumyuka wa Ssaabaminisita asooka Rebecca Alitwala Kadaga agambye nti Etteeserezo ly’eggwanga terifuddeyo ku ntumbula ya nkozesa ya lulimi Luswayiri mu babaka bennyini.
Kadaga asinzidde ku mikolo gya lulimi luno wano mu Kampala, n’agamba nti olukiiko lwa ba minister n’ekitongole ekiramuzi bakola kyonna ekisoboka okuyiga Oluswayiri mu nteekateeka yaabwe eyabateerwawo eya buli ssabbiiti.Ono ategeezezza nti abantube baateekateeka dda ebigenda okweyambisibwa mu kusomesa ababaka mu Tteeserezo ly’eggwanga Oluswayiri.
Ono agambye nti mu bbanga lya myaka ena Gov’t ejja kuba n’enteekateeka essa Oluswayiri ku lukalala lw’amasomo ku ddaala lya Primary ag'obuwaze.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.