Abalonzi emitwalo 90,733 be beetabye leero mu kulonda okw’okujjuza ekifo ky’Omubaka wa Oyam North mu Tteeserezo ly’eggwanga mu kalulu akasabuukuluddwa enkya ya leero.Amaliiri ga leero akakiiko k’eby’okulonda katuusizza ebyeyambisibwa mu kulonda mu bifo byonna ebironderwamu ebiri mu ggombolola ezieri eyo mu munaana ezikola ekitundu kino era abalonzi wezaaweredde essaawa emu ey’oku makya nga beesimbye dda mu nnyiriri balindirira balondesa kuggulawo kulonda.
Akalulu kano kalimu abantu abana abaggyeeyo obwenyi okuyaayaanira entebe eno okuli ,akwatidde NRM Bendera mutabani wa Charles Okello Engora amanyiddwa nga Samuel Engola Junior ,owa NUP Daniel Okello,owa UPC Dr Eunice Apio Otuko n’owa FDC Freddy Newton Okello.Ebibiina ebyasimbyewo abantu baabyo mu kalulu kano byakkiriziddwa buli kimu okuweerezaayo abalondoozi b’ensonga munaana munaana abali ku gw’okwetawula n’okulaba akalulu bwe katambula.
Ssekamwa w’akakiiko k’eby’okulonda Omwami Paul Bukenya agambye nti ebikozesebwa baafubye okulaba nga babituusaayo mu budde waleme kubaawo kwekwasa nsonga yonna.Byo eby'okwerinda mu Oyam wonna byakyusiddwa ,poliisi n'amagye byetawula okukira Nnamutale omunyageko Ente.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.