Okubala ebivudde mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Oyam North mu Tteeserezo ly’eggwanga kuggyiddwako Akawuuwo oluvannyuma lw’okulonda okufundikirwa ku ssaawa ekkumi ezassibwawo akakiiko k’eby’okulonda.
Agavudde mu Oyam gategeezezza nti oluvannyuma lw’okubala n’okugatta obululu bwonna obukubiddwa leero obugattiro bw’akalulu kano obutegekeddwa ku kitebe kya district eyo mwe munaasinziirwa atwala eby’okulonda mu Oyam mu kiro ekinaakeesa olw’enkya okulangirira anaabeera awangudde ku bantu abana abaggyayo obwenyi okuyaayaanira entebe eyo.
Gyebuvuddeko Ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda Omulamuzi Simon Byabakama yalagidde ab’eby’okwerinda okukwata n’okuyoola mmotoka zonna ezaabadde zibungeetera mu kitundu ekyo ezitabadde na Number Plate n’alagira na buli anaakwatirwa mu bunyazi n’okugootaanya okulonda aggalirwe.Weewaawo ng’akalulu katwaliddwa okubeera ak’emirembe waliwo ebifo ebironderwamu ebiwuliddwamu emivuyo egisusse ku mbeera bwetera okubeera mu kulonda ng'abantu ababadde n'Emigemerawala balumye ekifo ekkyo ne batandika okugolola obululu wakati mu kutiisibwatiisibwa kw'ababadde balondesa.
Tukakasiddwa nti eby'okwerinda ku kitebe kya district ya Oyam byongeddwamu ebirungo wakati mu kubala ebivudde mu kalulu kano.Akalulu kalimu abantu bana,akwatidde NRM Bendera Samuel Junior Engola ,owa NUP Daniel Okello,owa UPC Dr Eunice Apio Otuko n’owa FDC Freddy Newton Okello.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.