Eby'okwesittaza abakozi ku mirimu bikomezebwe

Hon Charles Bakkabulindi worker's Member of Parliament
Image: Yintaneeti

Ababaka abakiikirira abakozi mu Tteeserezo ly’eggwanga basabye abakozesa okulwananga obwezizingirire bassengawo embeera eteesittaza bakozi mu bitongole byabwe.Omubaka Charles Bakkabulindi omu ku bakiikirira abakozi agambye nti newankubadde nga Gavumenti ekoze kyesobola okulaba ng’abakozi bawulirira emirembe gye bakolera nga tebeesittaziddwa bakozi bannaabwe ne bakama baabwe n’amateeka ne gabagwa,bingi ebitannakolwa mu kuteekesa mu nkola amateeka nga gano.

Omukulu agambye nti Gavumenti esaanidde esseewo ejjamba erineeyambisibwanga mu kubunyisa etteeka nga lino eggwanga lyonna,abakozesa n’abakozi bonna yonna gye bali bategeere eddembe lyabwe.

Bakkabulindi bino abyogeredde mu kutongozebwa kwa alipoota ey’eby’emirimu,obutebenkevu bw’abakozi n’ebikolwa eby’obukambwe ebituusibwa ku bakozi eyo gye baweerereza ng’enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe bannakyewa abalwanirira eddembe ly’abakozi nga bakulembeddwamu aba Population Services International.