Ppaalamenti evuddeyo ku by'obukaba ebirabwa abaana ku masimu

Omumyuka w'Omukubiriza w'Etteeserezp ly'eggwanga Thomas Tayebwa
Image: Yintaneeti

Omumyuka w’Omukubiriza w’Etteeserezo ly’eggwanga Thomas Tayebwa alaze obwetaavu obw’amangu ku luuyi lwa Gov’t ne bannakyewa abalwanirira eddembe ly’abaana mu kwanganga ebizibu abaana n’abavubuka bye boolekezebwa emikutu gy’amagezi ag’ekikugu.

Thomas Tayebwa asinzidde mu kafubo ke yeevumbye n'abakwatibwako ensonga omukubaganyiriziddwa ebirowoozo ku buvujjirizi mu nsonga z’abato n’agamba nti abaana mu maka ga bazadde baabwe balaba obuzannyo bw’abato obumanyiddwa nga Cartoon obutasaana.

Omukulu awadde eby'okulabirako eby'obuzannyo obw’ebikolwa eby’obukambwe omuli okwetuga n'okutta abantu,ekimu ku biviiriddeko abaana ababeera beekyaye okwetuga n'abamu ne batta bato bannaabwe nga babiggya ku ebyo bye babeera bakuze nga balaba era ne babitwala ng'ebya bulijjo. 

Ayongedde n'ategeeza nti abalala balaba obutambi bw'eby’obukaba ku masimu ga bazadde baabwe ne mikwano gya bazadde baabwe eky’obulabe ennyo gye bali kati ne gyebulijja.Wano waasinzidde n'asaba bwe kuba nga kwe kusiima kw’abalala,ministry y’eby’empuliziganya n'amagezi ag'ekikugu eggale emikitu egituusa ku bannayuganda eby’obukaba ng’amawanga g’abawarabu agamu bwe gazze gakikola.