Gavumenti eyogedde ku bya DNA

Minisita w'eby'amawulire n'okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi
Image: Yintaneeti

Ministry y’eby’obulamu eteekateeka kukola kunoonyereza ku Meekennenyerezo g’Endagabutonde erabe ago agakkirizibwa era ne gakakasibwa okukola omulimu guno n'agatakkirizibwa agagukola mu bumenyi bw'amateeka ssikulwa gawabya bannansi n'ekkula ly'obufumbo okwonoonekera ddala.

Minister w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr Chris Baryomunsi yabadde ayanukula Mumyuka wa mukubiriza wa Tteeserezo ly’eggwanga Thomas Tayebwa eyasabye eggwanga okulungamya enkebera y’Endagabutonde.

Baryomunsi agambye nti ameekenneenyerezo gano bannaffe ge beeyitira Laboratories bwe ganeetegerezebwa,olukalala lw'aganaaba gakakasiddwa okukola omulimu guno lunaafulumizibwa buli muntu amanye.Ameekennenyerezo aganaasangibwa gatakkirizibwa  naye nga gabadde gakola omulimu guno gayimirizibwe mbagirawo.

Omukulu okuvaayo kyaddiridde amawulire okutandika okufuluma nga galaga amaka agayuziddwayuziddwa ensonga z'okukebeza abaana mugo Endagabutonde n'abaana abassiddwa mu Masanganzira g'ebizibu ssonga baabuwe tebaabirinaamu mukono.

Mu birala,amawulire era galaze abasajja bangi abeesanze basobeddwa embeera n'abamu ne baggyiramu ddala ebirwadde bwe beesanze ng'abamu ku baana mwebassizza ssente zaabwe ennyingi ssi baabwe,abakyala baabawagika mu baabwe.