Atomedde bana n'atta babiri,poliisi emukutte

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango
Image: Yintaneeti

Poliisi e Katwe eriko omugoba wa mmotoka gwekutte bwatomedde abantu bana babiri ne bafiirawo mbulaga.Akabenje kano akagudde mu masanganzira ge Namasuba kabaddemu motoka Number UBF 561N ebadde evugibwa Isabirye Ramathan essaawa eno atemeza emabega w’emitayimbwa ne pikipiki bbiri okuli UFG 507A ne UFU 227K ez’ekika kya Bajaj.

Ssekamwa wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango ategeezezza nti abafudde kuliko Ssensamba Paul ow’emyaka 24 abadde omugoba wa pikipiki ne Nalubwama Stella ow’emyaka 23 omutuuze we Kikajjo.Abalumiziddwa kuliko Kiyimba Godfrey owe Kibutika n’omukyala atategeerekese addusiddwa mu ddwaliro.Abafudde batwaliddwa mu ggwanika e Mulago.