Taata atuze omwana lwa nnusu bitaano


Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Kigezi Elly Maate
Image: Yintaneeti

Poliisi e Kannungu etandise okunoonyereza ku musajja Agaba Onacklet ow’emyaka 46 agambibwa okutuga katabanike ak’Entumbweze ak’emyaka 10 n’akatta.Agavuddeyo gategeezezza nti omusajja ono yatuma katabanike kano ka Ivan Nuwagaba okumugulira Sseggereeti wa Shilling 1000/= ko ne kagulako wa 500/= ezaasigalawo ebitaano ne kazeeguliramu ebitumbuuwa ne keeriira.

Kitegeezeddwa nti ekikolwa ky'akaana kano kyayisa bubi kitaawe waako era n'akeewerera okukatuusaako obulabe ssinga anaakakwatako.Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Kigezi Elly Maate ategeezezza nti kaanakalenzi kabadde katutte ennaku nga keekweka kitaawe waako okutuusa olunaku lwajjo lweyakakutte nga baabuwe kamusuubira okuba nti yakivuddeko.

Omusajja ono Agaba Onacklet yatuze katabanike kano n'Omuguwa era n’awanika omulambo gwako ku muti gw’omuyembe abuzeebuze abantu nti keetuze.Maate agambye nti essaawa yonna ono waakusimbwa mu mbuga z’amateeka avunaanwe era akangavvulwe bwe gunaamukka mu Vvi.