Democratic Party emalirizza enteekateeka z’okutongoza Omukago gwayo n’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM ku mukolo gw'embaga Makunale ng’Entanda Omuganda gye yagereesa eriko Ekibya, ogutegekeddwa mu kibuga Gulu nga 22nd omwezi guno ogwa Kasambula ogw'Omusanvu.
Amyuka Ssenkaggale wa DP Fred Mukasa Mbidde agambye nti gugenze kuwera mwaka mulamba bukyanga DP ne NRM bakwatagana wabula bannakibiina abasinga baasigala balaba ng’enkolagana etannatungibwabulungi era ekyayinza okubaviiramu obuzibu.
Mbidde asinzidde mu lukungaana lwabwe ne bannamawulire olutuuzibwa buli ssabbiiti wano ku kitebe kyabwe mu Kampala n'agamba nti ku olwo nga basinziira mu kibangirizi ekyabbulwamu erya Kawunda Gounds e Gulu lwe bagenda okutegeeza bannakibiina enteekateeka z’ekibiina kyabwe empya mu by’obufuzi bw’eggwanga.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.