Alipoota y'Embwa za poliisi eraze abakyala abamenyi b'amateeka

Embwa ya poliisi
Image: Yintaneeti

Abakyala 717 be bakwatiddwa Embwa Enkonzi z’olusu mu bumenyi bw’amateeka obw’enjawulo mu myezi etaano egiyise.Bwabadde afulumya alipoota y’obumenyi bw’amateeka poliisi mweyeeyambisiriza embwa enkonzi z’ensu,Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti abantu 6,843 be bakutte wakati w’Omwezi ogw’Olubereberye n’ogw’Okutaano omwaka guno okuli abasajja n’abaana ab’obulenzi enkumi 5,686 n’abakyala ssaako abaana ab'obuwala 717.

Mu kulinnya akagere abamenyi b’amateeka 8,563 be balondodde,emisango ebikumi 440 gibaddemu abaana ab’obuwala n’ab’obulenzi,nga mu bano mubaddemu ab’obulenzi 352 n’abaana ab’obuwala 88.Enanga agambye nti ku misango 8,563 gye baalondoola mu ngeri eno mu kiseera ekyo,emisango enkumi 2,463 gyatwalibwa mu mbuga z’amateeka ate emisango 2,883 ebyali biginyagiddwamu n’okubuzibwabuzibwa byazuulwa.

Omukulu ategeezezza nti okusanga obwangu mu misango egy’engeri eno basinze nnyo kukutuukako luvannyuma lwa kumanyisa bantu obuteetantala bifo byonna bibeera biddiziddwamu emisango.Enanga agambye nti abantu buli lwebasaalimbira mu bifo ebibeera biddiziddwamu emisango Embwa zikaluubirirwa okukonga ensu entuufu era n'alabula n'ababaddenga bakwata ku bintu ebisangwa awabeera waddiziddwa emisango nti babulankanya okunoonyereza.Ono asabye n'abantu obutaddamu kuwa baserikale ba Mbwa ezo ssente,babeera ku mirimu gyabwe n'entambula yaazo ebeerayo.