Poliisi ekakasizza nga bwe bakyasanze obuzibu mu kumanya ebifo byennyini abatujju bye bayinza okuba nga baluubirira nga Gavumenti ya Bungereza bweyagambye bweyabadde erabula abataka baayo abateekateeka okugenyiwako wano.Mu kulabula kwa Bungereza eri Abangereza abasuubira okujja wano n’abali kuno,yabasabye okwewala ebifo by’omujjuzo omuli ebirabo by’omwenge,ebifo ebiwummulirwamu abalinamu,Wooteeri n’ebirala ssi kulwa basammukirwa kacaali.
Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti okulabulwa kuno tekwasonze ku bifo byennyini bantu bano bye baluubirira kutuusaamu bulabe wabula n’asaba abavunanyizibwa ku bifo ebikunganirwamu abantu abangi wano mu ggwanga byonna okubeera abeegendereza n’okwekengera abantu bonna be bayinza okulaba nga tebabamanyi naddala abeekubyakubya ebifaananyi ku masomero,obutale,amasinzizo n’ebirala.
Fred Enanga era asabye bannayuganda okwegenedereza abantu abatambula beetegereza ennyo ebifo eby'enjawulo tomanya bayinza okuba nga babeera beetegereza ngeri gye bayinza kutuusa bulabe ku bantu ababeera mu bifo ebyo mu budde obw'enjawulo.Ono agambye nti eggwanga libadde ttebenkevu okuggyako jjuuzi wano abayeekera ba ADF lwe baakola obulumbaganyi ku baana b'essomero e Mpondwe mu Kasese.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.