Ssaabapoliisi Martins Okoth Ochola akunze basajjabe

IGP Uganda Martins Okoth Ochola
Image: Yintaneeti

Ssaabapoliisi wa kuno Martins Okoth Ochola y’akuliddemu enteekateeka y’okuwunda amatiribona abaserikale ba poliisi abaasuumusibwa gye buvuddeko ng’enteekateeka eno etegekeddwa ku kitebe kya poliisi e Nagguru.Omukulu ono akubirizza abaserikale bano okwongera okukola mu ngeri eggyayo okubangulwa kwabwe ku lw’obulungi bwa bannayuganda n’ebyabwe.

Abaserikale ba poliisi buli lwe babeera basuumusibwa balabulwa ku kigenge ky’enguzi n’obulyake engeri emirimu gyabwe gyegitambulira obutereevu wakati waabwe n’abantu aba bulijjo.Bano bali wakati wa mitendera ogwa Assistant Commissioner of police ne Senior Commissioner of Police.

Bano 1638 ekirangiriro ky'okukuzibwa kwabwe kyabatuusibwako Minister Kahinda Otafire eyategeeza ng'abakozi abalungi bwe basaana okusiimwa.

Abaggyibwa ku ddaala lya Inspector of police okudda ku lya Assistant Superintendant of police bali ebikumi 400 ne bannaabwe abalala.