Nakawa Vocational Training College etaasizza bannamakolero

Yinginiya Kenneth Kaijuka akulira National Housing and Constructional Company Limited
Image: Yintaneeti

Abayizi abasoma eby’emikono bakubiriziddwa obutatuuliranga bukugu bwe babeera bafunye mu kubangulwa engeri gyekiri ekisumuluzo ky’obulamu bwabwe obw’omu maaso ekisingayo.

Yinginiya Kenneth Kaijuka akulira ekitongole kya National Housing and Construction Company asinzidde mu kutikkira bayizi abasobye mu bikumi 500 mu bbanguliro ly’eby’emikono erya Nakawa Vocational Training College ng’omugenyi omukulu n’agamba nti amasomo gano okuggyako ng’omuntu agasomye tamanyi kyasomye,naye abagasoma nga bamanyi kye basoma bakyusa mangu embeera.Bano tebatera kunoonya mirimu,gye gibanoonya olw'obukugu bwe babeera bafunye ate batandikirawo okukola olufuluma awatali kusooka kwongera kubangulwamu.

Omukulu ono era agambye nti okuva ebbanguliro lya Nakawa lino lwe lyaggulawo enkolagana ey'obutereevu n'amakolero mu kubangula abaana abalina obukugu obwetaagibwa abakozesa,babagondezza nnyo embeera kubanga bafulumya abo bennyini abeetaagibwa.Ye akulira ettendekero lino omwami Muwanga Fred abaana abamalirizza emisomo gyabwe abasabye obuteesibira awo,lino libeere ddaala litandikirwako,beeyongerere ddala waggulu basobole okutuukiriza ebirooto byabwe.

Abayizi bano mu masomo ge bakuguseemu,mulimu ag’eby’ekikugu mu byuma n’eby’amasannyalaze,eby’obuzimbi,eby’amazzi,tekinologiya n’ebirala era nga boolesezza ku gamu ku magezi ge bayize okumala ebbanga buli basomi lye bamaze wamma ggwe ne kikakasibwa nti ddala babanguddwa.