Eyakulira ku kittavvu ky'abakozi Richard Byarugaba bimwonoonekedde

Eyakulira ku kittavvu ky'abakozi ekya NSSF Richard Byarugaba
Image: Yintaneeti

Kaliisoliiso wa Gov’t Betty Olive Namisango Kamya alagidde eyakuliranga ekittavvu ky’abakozi Richard Byarugaba n’eyakuliranga eby’ensimbi Stevens Mwanje okuliwa ssente Obuwumbi Obuna obulambirira n’Obukadde ebikumi ebina ssaako Obukadde bwa ssente za wano obulala 687 n’emitwalo amakumi asatu olw’okufiiriza kwebaafiirizaamu ekittavvu ekyogerwako.

Bwabadde afulumya alipoota y’entambuza y’ekittavvu egambibwa obutaabeera nnungi ng’omukulu oyo y’akyakikulira,agambye nti abakulu abo baafulumya ssente Obuwumbi obwo Obuna eri abaaliko abakozi abaawummula nga beeyagalidde ekitakkirizibwa mu mateeka.Ono era agambye nti Byarugaba aliko abakulu ku lukiiko olufuzi babiri beyawaliriza okulekulira ekyafiiriza ekittavvu ssente Obukadde 687 era ze bateekeddwa okuliwa.

Betty Kamya wabula ategeezezza nti newankubadde nga musajjamukulu Byarugaba ebintu bimugendedde bubi,aliko ebikulu era eby’amanyi byeyakolera ekitongole kino ne kikulaakulana okuva ku madaala aga wansi gye yakisanga.Omukulu agambye nti mu Kisanja kya Byarugaba wakati w’omwaka 2015-2022,abateresi emiwendo gyabwe gyeyongera n’ebitundu 116% sso n’ejjamba eribaddenga literekebwa lyalinnyira ddala wakati wa 2009-2022 n’ebitundu 922%.