Ministry y’eby’amayumba esanyukidde eky’okuyisa amabago g’amateeka omuli n’aganaasobozesa enkola y’eby’ensimbi z’ekiyisiraamu wano mu ggwanga.Minister omubeezi ow’eby’amayumba Persis Namuganza ategeezezza nti ng’enkola y’ebittavvu eby’engeri z’ekiyisiraamu emanyiddwanga Islamic Banking etuusiddwa wano,ministry ye egenda kukolagana n’enteekateeka ez’enjawulo wansi w’enkola eno beewolenga ssente zeeyambisibwenga mu kuzimba amayumba agatali ga buseere.
Namuganza agamba nti amayumba gano bannayuganda banaagapangisanga n'oluvannyuma bagabaguze bawone obupangisa.
Mu kusaala Sswala za Idi Adhuha,abakulembeze b’abayisiraamu mwe baasinzidde ne basiima ppaalamenti olw’okuyisa ebbago ly’etteeka ery’ebittavvu lye bagambye nti omukulu bwanaaliteekako omukono linaaba lyolekedde okugondeza bannayuganda mu mirimu gy’obwanneekoleragyange egy’enjawulo nga bayita mu kwewola ssente ezitaddizibwamu magoba.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.