Betty Nambooze ayambalidde Katumba Wamala


Betty Nambooze Bakireke mubaka Munisipaali ye Mukono mu ppaalamenti
Image: Yintaneeti

Ssentebe w’akakiiko k’ababaka mu Tteeserezo ly’eggwanga ak’ebisuubizo bya Gov’t n’obweyamo bwayo eri bannansi Betty Nambooze Bakireke anenyezza minister w’eby’entambula n’emirimu Gen Katumba Wamala ku byawulirwa nti yalemererwa okuwabula Omukulembeze w’eggwanga Gen Tibuhaburwa M7.

Museveni mbu yayisa Olugaayu mu mateeka n’emitendera emituufu egiyitwamu okuwa Kkampuni yonna omulimu gwa Gavumenti ku mulimu gw’okuzimba enganzikiro z’eggaali y’omukka eziva e Tororo okudda e Gulu.

Bino okutuuka wano kiddiridde amawulire okufuluma nti omukulembeze w’eggwanga Tibuhaburwa Museveni yawandiikira minister Katumba Wamala ng’amulaga kkampuni eteekeddwa okuweebwa omulimu gw'okuzimba enganzikiro eyo ekikontanira ddala n’enkola y’emirimu ssonga kkampuni zaali zisabiddwa okussaayo okusaba kwazo ne kitaweebwa budde olw’ebbaluwa y’omukulu eyafuuka nnattabula.