Ebitongole by’eby’okwerinda bisabiddwa okunoonyereza ku kalunsambulira avuddeko ettemu eritandise okweyubula mu ggwanga.Bwakulembeddemu Sswala ya Idi Adhuha ku kitebe ky’Obuyisiraamu eky’Ekiwayi kye Kibuli Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Mohammad Galabuzi avumiridde ettemu erisitudde enkundi.
Omukulu agambye nti ebyalabiddwa mu Masaka ab’Ebijambiya bwe baatemyetemye ab'oluganda ne Kasese ku baana be Lhubiriha SSS,wasaanidde wabeerewo ekikolebwa.Sheikh Galabuzi asabye abakwatibwako ensonga bakomye okusalirangaawo ensonga nga beesigama ku ddiini n’amawanga bwe baba bawa abantu eddembe Ssemateeka w’eggwanga lyabawa mu kusimbwa mu mbuga z’amateeka n’abamu okweyimirirwa.
Sheikh Galabuzi era asabye abazadde obutananyirizanga mu buvunanyizibwa bwabwe obw’okugunjula abaana abalimu Ensa era abantubalamu abalitwala ensi eno mu maaso.
Ye Jjajja w’Obuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge Gavumenti eramula kuno agitadde ku Nninga eddemu ekakase bannayuganda ku bukuumi bwabwe oluvannyuma lw’abatemu okulumba essomero e Mpondwe mu Kasese n’ab’oluganda mu ttundutundu lye Masaka.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.