Ente 1000,Embuzi 8000 n'Endiga 5600 zisaddaakiddwa mu Kampala

Ennyama y'Embuzi mu Lufula ng'erindwa kugulwa
Ennyama y'Embuzi mu Lufula Ennyama y'Embuzi mu Lufula ng'erindwa kugulwa
Image: Yintaneeti

Abakinjaaje mu lufula ezeetoolodde ekibuga Kampala emirimu gibatambulidde bulungi ,abasasi baffe batuuseeko mu lufula okuli eye Kaleerwe mu ggombolola ye Kawempe,eya Portbell Road mu Masekkati ga Kampala ,eye Wankulukuku mu ggombolola ye Lubaga , eye Kabojja okumpi ne Kyengera mu Wakiso n’endala zonna ne bategeezebwa nti emirimu gitambulidde ddala ng’ennyama etambudde engeri gyebadde Idi ey'okusaddaaka.

Abasasi be bamu bwe bawuubyeko olubu lw'ebigere mu katale k'Embuzi wano mu Kisenyi mu Kampala bategeezeddwa nti omulundi guno abayisiraamu baguze Embuzi eziwera newankubadde nga n'abataguze gye bali.Ssentebe w’abasuubuzi b’ennyama mu lufula ye Kaleerwe Ssaalongo Ssekannyu atutegeezezza nti basaze Ente ebikumi 200,Embuzi ebikumi 400  n’Endiga 150 mu lufula ye Kaleerwe yokka era zitambudde bulungi.

Bo abatunzi b’emmere era mu butale obw’enjawulo wano mu Kampala tebibatambulidde bulungi nga bwe baabadde basuubira ng’oggyeeko mu butale obumu weewaawo ng’abatunzi b’Omuceere bagambye nti ekyabwe kisalidde mu Ntamu batunze ne babulako n’okunona gwe baabadde batutte mu maka gaabwe okuliibwa nagwo bagutunde.

 

Abasuubuzi b'ennyama nga bagyetegereza mu Lufula
Ennyama y'Ente mu Lufula Abasuubuzi b'ennyama nga bagyetegereza mu Lufula
Image: Yintaneeti