Enteekateeka z’okugalamiza Ebisigalira by’omulamuzi wa kkooti ensukkulumu eyawummula emirumu gy’ensi eno ssabbiiti eri Stella Arach Amoko zitandise kkooti bweyasazeewo eggoye ku maziikage.
Kkooti yasazeewo Ebisigalira by’omukyala ono bigalamizibwe ku butaka ewaabwe mu district ye Nebbi ng’abaana be bulijjo bwe basaba.Kino kyaddiridde Omulamuzi Ketrah Kitariisibwa Katunguka okugoba okusaba kwa Ambassador Idule Amoko bba w’omugezi abadde ayagala omugenzi aziikibwe ku luuyi lwe mu Adjumani.
Gyebuvuddeko kyali kisaliddwawo Ebisigalira by’omulamuzi ono bigalamizibwe ku kijja eky’olukale ng’enjuyi zombi olw’ekika kye n’olwabba ziganye okukkanya.Omulamuzi ono okuva lwe yassa ogw'enkomerero wazzenga watuuzibwawo enkiiko ez'enjawulo eziteekateeka okukkanya ku kifo omubiri gw'Omulamuzi wegubadde gusaanidde okugalamizibwa naye ng'okukkanya kugaana bwe batyo abakulu ne basalawo Omugenzi nga bwabadde munnamateeka,ensonga zigonjoolerwe mu mbuga z'amateeka.
Embuga z'amateeka ze zaalambise wa wennyini omubiri gw'omugenzi weguteekeddwa okugalamizibwa ng'oggyeeko ekyasooka okusalwawo eky'okumuziika mu kifo ekitaliiko luuyi eky'olukale.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.