Abayisiraamu okwetooloola enkulungo y’ensi bakeeredde mu keetalo ka kusaala idd ala aduha, ey’okusaddaaka mu kujjukira ekyafaayo kya Jjajjaabwe Nnabbi Ibrahim.
Olunaku luno abayisiraamu kwebajjukirira obukkiriza bwa Nabbi Ibrahim bweyayolesa eri katondawe bweyasalawo asaddaake mutabaniwe Katondawe amale amuwe Endiga gyeyasaddaaka era ekyafaayo kweyafunira erinnya ly’obwajjajja bw’abakkiriza.
Okusaala Idi kutegekeddwa mu bibangirizi,ebisaawe n’emizikiti gyonna okwetooloola eggwanga ng’okusaala Idi ku kitebe ky’obuyisiraamu ekikulu mu ggwanga ku lusozi Kampalamukadde kukulembeddwamu Mufti wa Uganda Sheikh Shabban Ramathan Mubajje.
Ku luuyi lwe Kibuli okusaala kukulembeddwamu Supreme Mufti ng'Omulangira Kassim Nakibinge n'abanene abalala tebakutumiddwa mwana ssonga era nga bulijjo omukulu ateeseteese okusembeza abagenyi be mu makaage.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.