Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akulisizza abaddu ba Allah abayisiraamu olw’okutuuka ku Eidi Adhuha esaalwa olw’enkya.Nnyininsi mu kiwandiiko kyafulumizza ategeezezza nti Obuganda busabira Abayisiraamu bonna abaagenda okulamaga mu nsi entukuvu e Macca ne Madina basange obwangu mu kutuukiriza Empangi eyo enkulu ennyo mu nzikiriza yaabwe n’okwegayirira kwabwe kwanukulwe.
Empologoma etegeezezza nti mu kulamaga Abayisiraamu balaga obwetowaze awamu n’okusukkulumya Allah asobola byonna era n’akakasa nti kino Allah takikoze nga kabenje yakigenderedde era bweyageze n’abasaba n’okwebazanga Allah olw’ekirabo ky’obulamu obw’obuwangaazi bwabagabira obuwa.
Ssaabasajja Kabaka asabye Abayisiraamu mu kiseera kino babeereko essaala ey’enjawulo gyebasabira abantu baffe abaatufaako mu ngeri etaategeerekeka ate ne watabeerawo awondera kyagambye nti kiviiriddeko abantu bangi okuggwaamu essuubi olw’ebibagwako ne babulwa obuddukiro.Magulunnyondo mu bubaka buno asabye Abayisiraamu obuteerabira kusabira Myoyo gya baana abaatemulirwa mu ssomero lye Lubhiriha e Mpondwe mu Kasese n’embeera ya bazadde baabwe abaabulako akatono okufa oluvannyuma lw’ekyatuuka ku baana baabwe.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.