Abasajja balabuddwa ku kukebeza abaana Endagabutonde

Simon Peter Mundeyi Ssekamwa wa ministry y'ensonga z'omunda mu ggwanga
Image: Yintaneetii

Ministry y’ensonga z’omunda mu ggwanga esabye abaami abaaliyagadde okubeerako bye bakyusa ku Ppaasipoota zaabwe basooke bagende mu kitongole kyabwe eky’ebiwandiiko ekya NIRA eky’eby’ennangamuntu.

Ssekamwa wa ministry eno Omwami Simon Peter Mundeyi ategeezezza nti abaami abaali baawaayo ebikwata ku b’omu maka gaabwe nga mu kiseera kino abamu ku baana be baali basuubira okubeera ab’Entumbwe zaabwe tebakyali era baagala babaggyemu oluvannyuma lw’okubakebeza Endagabutonde,bayite mu mitendera egisaanidde.

Omukulu agambye nti abaami abasoba mu makumi asatu baabatuuseeko dda nga baagala baggye bakyala baabwe n’abaana abatali baabwe mu bibakwatako oluvannyuma lwa bannyaabwe okulabankana ne babazaala ebweru ate ne bababasiba.Ono agambye nti abaami abateekakasa mbeera za bulamu bwabwe tekyalibadde kirungi kukebeza baana baabwe kubanga bangi bafuna obuzibu mu bulamu oluvannyuma lw’okukizuula nti kyenkana tebalina baana ku nsi.

Omukulu awadde eby’okulabirako by’abasajja abatambula boogera bokka na bokka olw’embeera eno okubagwako n’abasaba waakiri bwe babeera ba kukebeza baana,bakikolenga ng’abaana baakazaalwa.