Kyobeera ekitagambika ababadde ku gw’okuwenja bannaggagga abana ne mutabani w’omu kubo abaagendera mu ka Lubbira okwerabira ku bwaguuga bw’eryato lya Titanic eryagwa mu nnyaja Kirimulaala Atlantic mu mwaka gwa 1912 bwe bakakasiddwa okubeera nga baafiiriddeyo.
Bano kuliko Hamish Harding Omungereza,Shazada Dawood Omupakistan ne mutabaniwe Suleman ow’emyaka 19,Paul-Henry Nargeolet ne Stockton Rush owa Ocean Gate.Agavaayo galaga nti abakulu bano eyo gye basse mu mmita ezisoba mu nkumi 4000 nga bali mu Kalubbira baggweereddwako omukka gw’obulamu ne Kalubbira kano akaabadde kalondoolwa mu ngeri y’amagezi ag’ekikugu kaabuze ku mayengo agaabadde gakalondoola ne kabaluka ne kabayiwa e Buziba gye baabadde ng’obudde buno obunkenke bwa manyi nnyo obuli mu kaweefube w’okuwenja e Bisigalira byabwe.
Bano be bamu ku bagagga ab’amannya ababadde bamanyiddwa ku Ssemazinga wa Bulaaya.Bano mu kwagala okusaasanya ku nnusu ezibadde zibulako akatono okubayitaba,baaweesesa ke waaliyise akaato ka Lubbira bakeeyambise okulambula ku gwato guno gu Titanic gwe bazzenga abalaba mu byafaayo wabula ne bateerwamu embeera enaabasobozesa okugenda nga balamu n'okudda ekitaasobose.Kitegeezeddwa nti baaziyidde n'akantu olw'embeera y'omukka gw'obulamu gwe baabadde bassiddwamu ssaako ogwabadde gubavaamu ne kaabika ne kabawandula.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.