Babiri bagenze Zzirakumwa ku mwasanjala wa Masaka n'abalala bapooca

Lydia Tumushabe mwogezi wa poliisi mu Ttundutundu lya Katonga
Image: Yintaneeti

Abantu babiri kikakasiddwa nti bafiiridde mu kabenje akagudde e Nakigude-Mpanga ekisangibwa mu district ye Mpigi n’abalala basatu ne batwalirwa ku Bunnyo.Mmotoka ya Buyonjo ebadde ewenyuka Obuweewo UBL 045T eyingiridde ginnaayo UBE 778Z ku mwasanjala wa Kampala-Masaka.

Omugoba wa mmotoka UBL 045T abadde avugisa ekimama bwagezezzaako okuyisa Tipper Cino Truck ayingiridde mmotoka endala ebadde eva gyalaga nezibagoya.Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu eryetoolodde Omugga Katonga Lydia Tumushabe agambye nti abalumiziddwa batwaliddwa mu ddwaliro lya Double Cure gye bajjanjabirwa n’abafudde ne batwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro lye Gombe nga n’okunonyereza ku kivuddeko akabenje bwekugenda mu maaso.