Omumyuka w'Omukulembeze w'eggwanga avuddeyo ku baana

Ret Maj Jessica Alupo Vice president
Image: Yintaneeti

Omumyuka w’Omukulembeze w’eggwanga Jessica Alupo asabye abazadde,abasomesa n’abakulembeze b’ebitundu okufangayo bakuumenga abaana obudde bwonna.

Alupo asinzidde mu district ye Katakwi ku mikolo gy’olunaku lw’Omwana w’omuddugavu egy’omwaka guno 2023 n’agamba nti eddembe ly’abaana ery’okuyiga,eddembe ly’okukuumwa,ery’okufuna eky’okulya,ery’okubeera abalamu n’eddembe ery'engeri endala lyonna lirina ettoffaali lya manyi nnyo lyeriteeka ku bulamu bwe obw’omu maaso n’omuntu yennyini amuvaamu ng’akuze.

Emikolo gino gitegekeddwa ku ssomero lya Omorongola PS erisangibwa mu ggombolola ye Palam wansi w’Omulamwa ogwetoolooledde ku ddembe ly’omwana mu kiseera kino eky’omuseeseetuko mu by’amagezi ag’ekikugu.

 

Omukulu agambye nti ebiseera bino abaana balina eddembe lingi wabula bweritakwatwa bulungi,eggwanga libeera ligenda kubafiirwa bwatyo n'abakunga okufangayo ku baana Ssemazinga wa Africa abeere n'abanaamutwala mu maaso gyebunajja ne gyebulijja.