Ministry y'eby'obulamu esiimye abavudde ku Ssigala

Dr Hafsa Lukwata Mental health division head ministry of health
Image: Yintaneeti

 

Ministry y’eby’obulamu ekakasizza ng’enkozesa ya Sseggereeti ne Taba bwegenze ekendeera okuva eggwanga lweryafuna etteeka erikugira enkozesa yaabyo.

Akulira ekitongole ky’ebirwadde by’emitwe wansi wa kinnaakyo eky’ebirwadde ebitasiigibwa ekya Non Comunicable Diseases mu ministry y’eby’obulamu Dr Hafsa Lukwata asinzidde ku mukolo Omukyala munnamawulire Mawerere Sarah kwaweereddwa engule y’obusukkulumu mu kuwandiika eggwulire ly’eby’obulamu ku luuyi lw’etteeka erikugira enkozesa ya Sseggereeti ne Taba n’agamba nti kaakano bannayuganda abakyakommonta Sseggereeti ne Taba bali ebitundu 3.8% ekiraga okukendeera kwabwe okw’ebitundu 82%.

Ye Baguma Tinkasimire Richard omukwanaganya w’emirimu mu bannakyewa aba Uganda Health Communications Alliance agambye nti ssinga abantu abatono abasigadde bakyafuuweeta Sseggereeti ne Taba bamuvaako eggwanga Uganda linaaba lyolekedde okwetangirira ddala ebirwadde ebiva ku Taba.

Ono agambye nti ebifo ebisinga omukunganirwa abantu ssi kyangu kusangamu bafuuweeta Taba ng’oggyeeko ebifo omukungaanira abadigize ng’ebirabo by’omwenge.Baguma wano era waasinzidde n’alabula abavubuka ku Taba akyusiddwakyusiddwa n’asabikibwa mu bintu ebitalabikirawo nti Taba,muno awadde eby’okulabirako bya Taba ayitibwa Shisha,taba anuusibwa,agaayibwa,Electronic Cigerates (nga bwayitibwa) n’ebirala.