Katikkiro wa Buganda akunze abavubuka obuteegadanga


Katikkiro Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga
Image: Yintaneeti

Katikkiro wa Buganda ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga akunze abavubuka okwewala okwegadanga. Kamalabyonna wa Buganda Mayiga alabudde abavubuka naddala abali mu by’emizannyo okwewala ebikolwa eby’okwegadanga, kibayambe okwekuuma nga balamu.

 

Mukuumaddamula asinzidde mu Bulange Mengo bw’abadde atongoza ebikujjuko by’okuggulawo empaka z’Amasaza ez’omulundi guno, n’ategeeza nti ebikolwa eby’okwegadanga biyinza okubasuula mu kabaate k’okukwatibwa ekirwadde kya Mukenenya, n’okubaggya ku mulamwa gw’okutumbula ebitone byabwe.

 

Katikkiro agambye nti mu kuggulawo empaka z’Amasaza ez’omwaka guno, Ssaabasajja asiimye zitambuzibwe ku mulamwa gwe gumu ogw’okulwanyisa ekirwadde kya Kiryatabaala, nga wano era w’asinzidde n’akunga Abaganda okubaawo mu bungi okubugiriza Maasomoogi ng’aggulawo empaka zino mu kisaawe e Wankulukuku kulw’omukaaga luno.