Ekkomera ly'abaana e Kampiringisa lyolekedde okusaanawo

Akulira oluuyi oluwabula Gavumenti mu ppaalamenti Mathias Mpuuga
Image: Yintaneeti

Akulira oluuyi oluwabula Gov’t mu Tteeserezo ly’eggwanga Mathias Mpuuga asabye Ppaalamenti enonyereze ku ngeri ministry y’eby’obulimi n’obulunzi gyeyafunamu ekitundu ku ttaka ly’ekkuumiro ly’abaana ba ngumyamitwe erye Kampiringisa National Rehabilitation Centre mu district ye Mpigi ekiwerako yiika 19.

 

Omukulu ono ali mu kulambula district z’ettundutundu eryo omuli Gomba,Butambala,Mpigi agambye nti yategeezeddwa nti ebimu ku bitundu by’ettaka ly’ekkuumiro lino bigenze biryebulwako abantu ba Ssekinnoomu mu Gov’t eramula kuno ne ministry y’eby’obulimi ekirikendeezezza ekiyitiridde ne kikugira n’egimu ku mirimu gy’ekifo okutambula obulungi.

 

Akulira ekkuumiro ly’abaana lino Omukyala Theopista Mutooro ategeezezza Mpuuga nti ebiro bino emiwendo gy’abaana ababaweerezebwa gyeyongedde ssong’embalirira gyebatambulizaako emirimu ekendeezebwa nnyo ministry y’eby’enfuna n’okuteekerateekera eggwanga.Ono ategeezezza Mpuuga nti embalirira y’omwaka gw’eby’ensimbi guno bassiddwamu omutemwa gwa Bukadde bwa kuno 600 lwokka ssonga baali bakoze embalirira ya Kawumbi kalamba n’Obukadde ebikumi bisatu.