Omukubiriza w’Etteeserezo ly’eggwanga Anita Among yeeweredde obutaddamu kukubiriza ntuula za Tteeserezo lino gyebunajja ssinga ministry y’eby’ensimbi enaagenda mu maaso n’okulagajjalira ensonga z’okusasulanga abasawo abagezesebwa n’abasawo abakulu bennyini.
Anita Among okuwera bwati kiddiridde ekibinja ky’abasawo abakulembeddwamu Dr Ekwaro Obuku okwekubira enduulu gyali oluvannyuma lwa Gov’t okulagajjalira okusindika abasawo abagezesebwa mu malwaliro n’okuba ensako zaabwe.
Among agambye nti ministry y’eby’ensimbi n’ey’eby’obulamu zaaweereddwa obukwakkulizo obumala ku nsonga z’ensako z’abantu abo n’okuweerezebwa kwabwe mu malwaliro nga ssinga kino kibalema bamaliridde obutaddamu kutuula kuteesereza ggwanga.
Kinajjukirwa nti abasawo bano bazzenga bassa wansi ebikozesebwa olw'okulagajjalirwa kwabwe okuva ku luuyi lwa Gavumenti era embeera eno ekosezza abalwadde bangi okwetooloola eggwanga n'abamu ne balugulamu obulamu.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.