Minister Kabanda abakunze ku buyonjo

Minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda
Image: Yintaneeti

Minister wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda asabye ab'ebibiina by'obwannakyewa ebikola ku kukyusa embeera z'abantu okussa essira n'okusomesa abantu ku ngeri gye bayinza okuganyulwa mu nteekateeka za Gov’t ez'eby'okwekulakulanya.

 

Minsa Kabanda bino abyogeredde Namuwongo mu zone emanyiddwa nga Yoka wano mu Makindye bwabadde atongoza enteekateeka ez’enjawulo ezaatandikibwawo bannalotale abe Kisugu- Victoria View n'ekigendererwa eky'okutumbula obuyonjo mu kitundu kino. Hajjati Minsa Kabanda era asabye abantu abawangaalira mu nzigotta okwenyigira mu kukuuma obuyonjo ate n'ebintu aba Rotary bye babakoledde naddala okubaleetera amazzi amayonjo.

  Omukwanaganya w’emirimu mu Rotary ye Kisugu-Victoria View Masadde Gorret ategeezezza nti bakoze ebintu bingi okuli okukyusa embeera z'abantu mu by'obulamu nga kye kyabawaliriza okubawa amazzi, kyokka yeekokkodde enkozesa y'obuveera embi abantu bwe babusibamu Kazambi ekireetedde emyala okuziba.