Paapa Francis asabidde Emyoyo gy'abaatemuliddwa e Kasese

Pope Francis
Image: Yintaneeti

Omusika wa Simoni Petero Paapa Francis yakulembeddemu okusabira emyoyo gy'abaana abaakoleddwako obulumbaganyi abasuubirwa okubeera abayeekera e Lhubiriha mu ggombolola ye Mpondwe mu Kasese abantu abali eyo mu makumi ana n'omusobyo omuli abaana n’abakozi mu ssomero eryo mwebaatemuliddwa mu bukambwe.

Paapa Francis avumiridde ebikolwa eby’engeri ng’eno ku baana ne bannansi abalala abatabirinaako kakwate konna n’asabira emyoyo gy’abaatemuddwa okufuna ekiwummulo eky’emirembe.Eggye ly’eggwanga erya UPDF okuva olwo likola kyonna ekisoboka okulaba nga lifufuggaza abajambula bano abagambibwa okubeera mu kibinja kya ADF.Bo abaana mukaaga abaawambibwa era ne beesogga eggwanga lya DRCongo n’abayeekera na kati tebannakubwako kya Mulubaale. 

Bo abantu amakumi 20 kikakasiddwa nti be baakakwatibwa ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku ssomero lye Lhubiriha e Mpondwe abantu 42 omuli abayizi 37 bamale babufiiremu.Ssekamwa wa poliisi Fred Enanga asinzidde ku kitebe kya poliisi mu ggwanga wano e Nagguru  n'ategeeza nti mu bakwate mulimu nnannyini ssomero lino n’alikulira n’abalala 18 bayambeko mu kunoonyereza okugenda mu maaso.Enanga agambye nti bamalirizza okwetegereza Ebisigalira by’abaana 17 abasiriirira ddala n'akakasa nti bano bonna baabadde baan ba bulenzi.