Mpuuga ne Nnabbanja baalyambalagana,azze mu masomero


Akulira oluuyi oluwabula Gavumenti Mathias Mpuuga Nsamba
Image: Yintaneeti

Akulira oluuyi oluwabula Gov’t mu Tteeserezo ly’eggwanga Mathias Mpuuga Nsamba asinzidde mu ggombolola ye Kiring’ente mu district ye Mpigi n’alaga obutali bumativu ku miwendo gy’abasomesa abatono mu masomero ga Gov’t kyagambye nti kyaliba ekimu ku ebyo ebiviirako abaana b’eggwanga bangi obutayita bulungi bigezo bibaweebwa.

Mu masomero Mpuuga g’alambudde kubaddeko Wamatovu Seed Muslim School eriweramu abaana 1,209 abasomesa 60 n’abakozi abawanira ku mirimu emirala amakumi 20 kyokka ng’abali ku lukalala lwa Gov’t okusasulirwa bali makumi 20 gokka n’abakozi abalala basatu.Akulira essomero lino Abubakar Sseruyange Kisule agambye nti newankubadde ng’emiwendo gyabaana gyeongera okuva n’omwaka gwa 2017 okuva ku 360  okudda ku 1.209 mu mwaka guno,ssente Gov’t zeyabaweerezanga okutambuza emirimu tezongezebwangako.

Enkya ya leero omukulu akedde kulambula district okuli Mpigi,Butambala ne Ggomba ng’essabbiiti ewedde Ssaabaminister wa kuno Robinah Nabbanja yamuwera okuddamu okulambula eggwanga bweyagamba nti buli gyayita aleka abakozi beekalakaasa bakaluubirize Gavumenti.

Ono yalagira ababaddenga bateekerateekera Mpuuga obugenyi mu malwaliro okubukomya,abadde ate akyali awo ng'omuntu y'omu Mpuuga ayingidde masomero ng'erimu ku gaalambudde lirina abaana bangi nnyo wabula abasomesa abasasulirwa Gavumenti ba lubatu,abasinga tebassibwanga ku lukalala kusasulirwa.