Museveni akakasizza nga bwakooye amabanja

Minister Kasaija ng'atuuka e Kololo okusomera eggwanga embalirira y'eby'ensimbi 2023/2024
Minister Matiya Kasaija Minister Kasaija ng'atuuka e Kololo okusomera eggwanga embalirira y'eby'ensimbi 2023/2024
Image: Yintaneeti

 

Omukulembeze w’eggwanga Tibuhaburwa Museveni akawangamudde bwategeezezza nti embeera eri mu ggwanga nga bweri ya kwezza,Gov’t gyakulembera egenda kwewola ku bukodyo amawanga amalala bwe gazzenga geeyambisa okudda engulu nga n’obumu baabweyambisaako mu mwaka gwa 1987 basisimule eby’enfuna by’eggwanga.Omukulu agambye nti bagenda kussa essira ku kuggulira amakubo g’eby’enfuna agabadde gakyesibye,okugaziya agabaddenga gatambula weewaawo mu mpola n’okwongera okutondawo amakubo g’eby’enfuna amaggya nga beeyambisa amagezi ga Ssaayansi ne Tekinologiya mwebayinza n’okukendeereza ku kugula ebunaayira ne bagulanga bya wano okusinga kyeyayise Okusaka.Omukulembeze w’eggwanga yakakasizza nga bweyasazeewo okukozesanga obuyinza bwe mu kukola okusalawo okusembayo ku byokwewola ensimbi okuva Ebunaayira.Ono akakasizza nti kyamazima ebbanja ly’eggwanga ddene naye ezisinga ku ssente ezo zeewolebwa tewali nnyo bwetaavu.

Mu mbalirira y’omwaka guno,Gov’t yaakukendeeza ku mabanja ga wano n’ebitundu 2.2% era omwaka gw’eby’ensimbi guno tebagenda kugulira bannabyabufuzi na bakozi ba Gov’t mmotoka mpya ndala okuggyako ez’ekika kya Gafeemulago n’ezitambuza emirimu gy’eby’obulamu endala zokka.Kasaija era agambye nti mu kugezaako okulondoolanga obulungi ssente z’omuwi w’omusolo ababalirizi b’ebitabo baakuweerezanga n’okutangaazanga ku nsaasanya y’ebitongole byabwe mu nkola ey’emyezi ena ena buli mwaka awatali kulwamu yadde okwebuzaabuza.

Omukulu era agambye nti embalirira eno ey’Obutabalika amakumi 52 eggwanga okusobola okugitambuliramu obulungi,bayimirizza engendo za bannabyabufuzi okugenda mu mawanga amalala nga bwegubaddenga gulabwa okuggyako abanaabeera bagendayo okunonyeza eggwanga ejjamba,eby’amateeka n’obuyambi obw’engeri endala zonna.Embalirira yeemu omukulu agambye nti etunuulidde nnyo okussizaawo bannayuganda n’eggwanga okutwalira awamu embeera ennungi mwebasobola okukolera awamu n’okugaziya obusigansimbi.