Omukulembeze w’eggwanga Tibuhaburwa M7 akakasizza nga bwagenda okubeera mu nteekateeka y’okusomera eggwanga embalirira y’eby’ensimbi ey’omwaka 2023/2024 newankubadde nga tannatereerera ddala.Minister Matiya Kasaija y’agenda okusomera eggwanga embalirira eno ey’Obutabalika amakumi 52 mu kisaawe e Kololo.
Byo eby’okwerinda bitandise okukyusibwamu n’enkozesa y’amakubo bweguli olw’enteekateeka egenda okubeera mu kisaawe e Kololo.Kitegeezeddwa nti enteekateeka eno nga bweri nkulu nnyo omukulu waakugirondoolera mu ngeri z’amagezi ag’ekikugu ng’ali weyeekuumira wakati mu kujjanjabwa ekirwadde kya COVID 19 ekyamuzinda nga bweyategeeza eggwanga gyebuvuddeko.
Ku luuyi lw’eby’obulamu,obubaka omukulu bwassa ku mikutu gye emitongole bulaga nti ageze akubira ddala ku matu era mu kiseera kitono agenda kubeera bulungi ddala.Enteekateeka eno etegekeddwa mu kisaawe Kololo era eby’okwerinda by’ekisaawe n’enkozesa y’amakubo agayita mu Kololo bikyusiddwamu engeri abakungu gye bagenda okugeeyambisa.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.