Nnabbanja aweze okukyazibwa kwa Mpuuga mu malwaliro ga Gavumenti

PM Robinah Nnabbanja
Image: Yintaneeti

Ssaabaminisita wa kuno Robinah Nabbanja aweze obugenyi obuzzenga butegekerwa akulira oluuyi oluwabula Gov’t mu Tteeserezo ly’eggwanga Mathias Mpuuga ku malwaliro ga Gov’t okwetooloola eggwanga.

Nabbanja asinzidde ku ddwaliro e Kawolo gyawuubyeko olubu lw’ebigere mu kaweefube w’okwongera okulongoosa omutindo gw’obuweereza n’agamba nti nga Gov’t, bamanyi buli ekyetaagisa kye bagenda okukola okulaba nga batereereza bannayuganda eby’obulamu n’obuweereza mu malwaliro gaabwe.

Omukulu okugenyiwayo kyaddiridde abasawo mu ddwaliro eryo okussa wansi ebikozesebwa olw’okubakandaaliriza ku misaala n’ensako era n’agamba nti akulira oluuyi oluwabula Gov’t yazzenga akunga abasawo okwesala Akajegere olw’ebibanyiga.

Kinajjukirwa nti Mathias Mpuuga Nsamba azze akyalira amalwaliro ag’enjawulo n’ategeeza n’eggwanga bwegali ng’abadde akyasembyeyo kukyalira ddwaliro kkulu Mukono gyeyasinziira n’ategeezebwa nga Leeba yaalyo bwerina ebitanda Omukaaga gwokka ssong’abakyala abasoba mu makumi 30 be basumulukukirayo buli lunaku.