Omukulembeze w’eggwanga Tibuhaburwa Museveni asabye ababaka bannakibiina kye aba NRM okulondoola entambuza y’enteekateeka z’okwekulaakulanya ey’e Myoga ne Parish Development Model (PDM) mu bitundu bye bakiikirira n’ekiruubirirwa ekiraba ng’abantu enkola zino zibakyusiriza obulamu n’embeera.
Museveni bino abyogeredde mu kuggalawo lusirika lwa bannakibiina kino olwayindidde e Kyankwanzi okumala enzingu 10 neruggalirwawo ku nnimiro ye eye Rwamasindi-Bulyamusenyu mu ggombolola ye Ngoma ekisangibwa mu Nakaseke.
Ababaka bano omukulu abasabye bazze buggya omwoyo gw’ekibiina kyabwe mubo,baleme kukolereranga bampaane n’okwagala ennyo ssente byagambye nti bibamazeemu nnyo ng’abakulembeze.
Olusirika luno lwatandikira e Kyankwanzi mu bbanguliro ly'eby'obukulembeze nga lwatambuziddwa n'ekiruubirirwa ekiraga ababaka eby'okulabirako by'enkulaakulana bye baalisaanidde okuyigiriza abantu be bakiikirira ng'eno omukulu azze awerekerwako Olubiriizi lwe Janet Kataha Museveni.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.