Eby’okwerinda ku biggwa by’Abajulizi ba Uganda e Namugongo ne Nakiyanja buli ddakiika byongera okukyusibwa wakati mu kweteekerateekera olunaku lw’Abajulizi ba Uganda olw’enkya nga 3rd ogw’omukaaga.
Tutegeezeddwa nti ebitongole by’eby’okwerinda byonna bikiikiriddwa mu kugabira abalamazi eby’okwerinda ebitaliiko agamba.Ekya Bambega ba Gov’t ekya ISO,ekya poliisi eya bulijjo,poliisi erwanyisa obunyazi bw’eryanyi ly’emmundu,Special Forces Command abakuuma omukulu ng’emmotoka zokka ezirina obulambe bw’olukusa ze zokka ezikkirizibwa okutuuka e Kyaliwajja.
Abakuluppya 48 be baakakwatibwa mu biggwa by’Abajulizi ba Uganda nga bagezaako okusika ebitali byabwe n’omwana omu kikakasiddwa nti abuze ku bazadde be.Amyuka Ssekamwa wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire agambye nti abalamazi basaanidde okubeera abeegendereza ennyo kubanga bannakigwanyizi bangi ekiro ky’olwa leero baakukimalirako Namugongo.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.