Abalamazi emitwalo 31,204 be babadde baakatuuka mu kiggwa ky’abajulizi ba Uganda ku luuyi lw’Ekerezia Katolika wetwagendedde mu ky’Emisana leero.
Omu ku bali ku kakiiko akateesiteesi k’okulamaga okw’omulundi guno Chris Kawaire avunanyizibwa ku bungi bwabaliyo agambye nti Essaza lye Tororo lyakawandiisa abalamazi 12,389,neriddirirwa Kampala n’abalamazi 8673,Mbarara abalamazi 7099,Gulu 1032.Abalamazi abavudde mu mawanga amalala okuli DRC 628,Kenya 333,South Sudan 68,South Africa 53,Tanzania 52,America 15.
Viika Genero w’Essaza lye Jinja era Ssekamwa w’Essaza eryo Rev Fr Paul Okello Wandera akakasizza nti byonna biri mu mbeera esingidde ddala okubeera entuufu.
Abajulizi bano aboogerwako battibwa ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga II wakati wa 31ST ogw’olubereberye 1885 ne 27th ogw’olubereberye 1887 nga bagambibwa okumujeemera olw’okuba baali bazudde Kabaka ow’Olubeerera era musajjawe Mukaajanga ye yabasanjaga.
Agamu ku mannya g’abajulizi agayinza okuba nga gaabaviirako obuzibu kuliko;Buuzaabalyawo,Muddwaguma,Mawaggali,Kiriggwajjo..Omuganda agamba nti ekiriggwajjo tekikutunuza ng’alira,Balikuddembe,Ssebuggwaawo-eriggwaayo nti Ssebukulubuggwaawo,Bazzekuketta,Mubyazaalwa,Tuzinde..baali bagenda kuzinda ani?,Mulumba,Kirirwawanvu,Mbwa,Kifamunnyanja,Munyagabyangu, Baanabakintu n’amalala.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.