Poliisi e Nakasongola etandise okunonyereza ku kiviiriddeko abantu abataano okufiira mu kabenje akagudde e Mijeera ku mwasanjala wa Kampala-Gulu enkya ya leero n’abalala amakumi 24 ne baggyibwawo ku Bunnyo.
Muno mubaddemu emmotoka ssatu nnambirira okubadde Bus ya Scania eya Californian Company Number UBK 688C,UBB 538K Isuzu ne mmotoka y’ekika kya Box Body Fuso UBC 209A.
Kitegeezeddwa nti mmotoka ebadde eva e Kampala eyingiridde ebadde yafiiridde ku kkubo n’etomererayo n’endala abasaabaze bataano ku babadde mu bus ne bafiirawo.Mu bafudde mulimu makanika abadde agezaako okutereeza mmotoka ebadde yafiiridde ku kkubo.
Ssekamwa wa poliisi mu ttundutundu lya Savanna Twinemazima Sam agambye nti ebisigalira by'abafudde bitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro lye Nakasongola ng'omu kubo ye Muwanga Alex abadde agezaako okutereeza mmotoka ya FUSO ebadde yafiiridde ku kkubo.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.