Ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB kyongezzayoko nsaleesale w’ekiseera ky’okuwandiisa abayizi abanaatuula ebigezo eby’akamalirizo eby’ekibiina eky’omusanvu,Senior ey’okuna n’ey’Omukaaga okutuusa ng’ennaku z’omwezi 7th omwezi guno ogw’omukaaga.
Ssaabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezo kino Dan Odong asabye abazadde okweyambisa omukisa gw’ekiseera kino ekyongezeddwamu bawandiise abaana baabwe ababadde bakyasigalidde.Webaatuukidde ku nsaleesale w’olunaku lwajjo ng’abayizi ebitundu 96% ab’eddaala lya Primary n’aba Secondary ebitundu 91.2% be bamalirizza okuwandiisibwa.
Ono agambye nti mu kiseera kino abazadde ssi baakusasuzibwa ssente za nsusso zonna ezaakazibwako erya Surcharge.Ssekamwa w’ekitongole kino Jennifer Kalule akakasizza nga mukamaawe bwagambye.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.