Banoonyereza ku batemudde munnamateeka

Kitiko-Birongo

Amyuka omwogezi wa Kampala Luke Owoyesigyire
Image: Yintaneeti

Poliisi e Kajjansi enonyereza ku ttemu ly’Emmundu erituusiddwa ku munnamateeka Mukisa Ronald.

Ebyakazuulwa biraze nti ono abadde omutuuze we Kitiko-Birongo Ndejje ng’atuuse w’abaddenga abeera n’asimba mmotoka Number UBJ 006K n’adda ku Lujji lwa Wankaaki ayingira amayumba gano aluggalewo mu kiro omuntu ataategeerekese n’amuyisaamu ebyasi ebitaamulekedde bulamu ne yeemulula.

Amyuka Ssekamwa wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigyire akakasizza ettemu lino ng’Ebisigalira bya Mukisa biggyiddwayo ne bireetebwa mu ggwanika e Mulago.