Nga tusemberera ennaku enkulu ez’amazaaliba ga mukamawaffe Yesu Kristo, akeetalo keeyongedde mu kampala wakati.Abantu okuli abagenda mu byalo okulya ennaku enkulu n’abenganda zaabwe saako abanoonya ebyassava bya ssekukkulu buli kadde beeyongera okweyiwa mu kibuga.
Mumbeera eno abasuubuzi abatunda ebya ssekukkulu nabo bongedde okuyingizaawo emmaali omuli ebyambalo, eby’okwewunda n’ebirala.Kyokka wadde guli gutyo bbo abasuubuzi mukibiina kyabwe ekya KACITA ssi bamativu olw’abatembeeyi abeeyiye kunguudo mubungi.
Thadeus Musoke Nagenda sentebe wa KACITA, agambye nti bafunye okwemulugunya okuva mu baamaduuka nga bakkukuluma olwabatembeeyi elumbbye mbalaza nekunguudo.Kkati baagala KCCA okuyiwa abasirikale baayo basindiikirize abatembeey bano.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.